10.01.2015 Views

OKUFFA

OKUFFA

OKUFFA

SHOW MORE
SHOW LESS

Create successful ePaper yourself

Turn your PDF publications into a flip-book with our unique Google optimized e-Paper software.

gyaffe gyeyongera okuba emilamu emirembe gyonna. Naye

Bayibuli eyigiriza kino “Emeeme eyononna y’erifa.” Ezekeri

18:20.

Emeeme eyononna teba namu emirembe gyonna, naye effa!

Era nga “bonna baayonoonna ne batatuka ku kitiibwa kya

Katonda;” (Abarumi 3:23), olwono emeeme za bantu abafudde

tebabelela okuba abalamu

oluvanyuma lw’okuffa!

Okukiriza nti twakolewa

mu mibiri gy’anjabulo era

n’emeeme z’anjabulo,

b u l i m b a b u l a l a

obw’enkukunala obuva eri

Omulabe n’emyeyo gye.

Katonda atubulira ffe

amazima nga bwe twatondewa. “Mukama Katonda n’abumba

omuntu n’enfuufu y’ensi n’amufuuwamu mu nyindo omukka

ogw’obulamu; omuntu n’afukka omukka omulamu.”

Oluberyeberye 2:7.

Katonda atubulira buterevu nti omubiri bwogatamu omukka

omulamu ofuna omwoyo omulamu (Yobu 33:4; Ezekeri 37:6).

Kati omubiri ogutalimu mukka omulamu twegwenkana omubiri

omulamu — naye omufu! Kale temulimu mazima mu njigiriza

egamba nti emmeeme eberela enamu emirembe gyonna

oluvanyuma lw’okufa. Yadde abantu tebalina mwoyo

oguberelawo nga mulamu oluvanyuma lw’okufa.

Omukka gwaffe oguva ewa Katonda era negutukiriza okuba

abalamu guyinza okukyusiwa mu byawandikiwa nga

“Omwoyo” (laba Yobu 27:3). Kati omubiri gatamu omukka oba

omwoyo gw’obulamu tufuna emmeme enamu. Naye omubiri

ogutalimu mwoyo teguyinza kwenkana emeeme enamu. Kale

tewaliwo mazima mu nzikiriza nti mu kuffa, omyoyo gyeyongera

okuba emilamu. Wetuffa omukka gwaffe oba omwoyo

gw’obulamu guddayo eri Katonda eyagutuwa mu kuzalibwa (laba

Mubuulizi 12:7; Zabuli 31:5), naye tewaliwo bulamu bw’anjabulo

oba obutategera mu mukka gunno okusingako wetugusa.

Olulyo lw’omuntu lulina kulaba okuffa nga telulina subbi

ery’okubona kikoligo kyokuffa. Waliyo eyatuwonya okuva mu

lulyo olutalina subbi “Naye tutunuulira oyo eyakolewa

okubulako akatono okuba nga bamalayika, ye Yesu,

olw’okubonabona okw’okufa ng’assibwako engule ey’ekitibwa ne

ttendo, olw’ekisa kya Katonda alyoke alege ku kuffa ku lwa buli

muntu. Kale kubanga abaana bagatta omusayi n’omubiri, era naye

ye nnyini bw’atyo yagatta ebyo; olw’okufa akirizise oyo eyalina

amanyi ag’okufa, ye Setani era alyoke ababwe eddembe abo bonna

abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw’entisa y’okuffa.”

Abaebbulaniya 2:9, 14-15.

Yesu mu kisa kye yatekawo ekubo eri abantu bonna abatalina

subi okubanunula mu kuffa emirembe gyonna basobole okubera

n’obulamu nate!

“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi n’okuwayo nawayo

omwana we eyaazalibwa omu yekka, buli omuntu yenna

amukiriza aleme okubula naye abeere n’obulamu obutagwawo.”

Yokana 3:16.

“Kuba bonna nga bwe bafira mu Adamu era bwe batyo mu

Kurisito bonna mwe balifukira abalamu.” “Era okuteegeza kwe

kuno nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu

obwo buli mu mwana we. Alina omwana alina obulamu naye

atalina mwana talina bulamu.” 1 Abakkolinso 15:22; 1 Yokana

5:11-12.

Abantu bonna kati balina esubi nti waliyo obulamu oluvanyuma

lw’okuffa — naye okuyita mu Yesu Kurisito yekka. Tewaliyo

muntu mulala: kabe Pulezidenti, oba Papa, Omubulizi oba Iguru,

Shamani oba musosodoti ayinza okuwa obulamu obutagwawo mu

mazima. Obulamu oluvanyuma lw’okuffa busangiwa mu Yesu

Kurisito yekka kubanga okuyita mu Yesu eyatuwa “obuyinza ku

balina omubiri bonna era bonna be bamuwa, abawa obulamu

obutaggwaawo” (laba Yokana 17:2). Yesu Kurisito alabikila

bonna — nabo abalowozewa okuba abawansi mu buntu oba mu

kinya ky’ekibi.

“Kale bwe tulina Kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa

wamu naffe mu bunaffu; naye eyakemebwa mu byonna bumu nga

ffe, so nga ye talina kibi. Kale tusembere n’obuvumu eri entebe

ey’ekisa tulyoke tuweebwe okusasirwa, era tufune ekisa

olw’okubeerwa bwe tukwetaaga.” Abaebbulaniya 4:15-16.

“Ekigambo kyesigwa era kisana okukirizibwa kwonna nti Yesu

Kurisito yajja munsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze

ow’oluberyeberye.” 1 Timosewo 1:15.

Abantu bonna bayinza okubumula mu kusubira nti waliyo

obulamu oluvanyuma lw’okuffa — naye okuyita mu Yesu mwokka.

Tekyetagisa omuntu yenna okutya okuffa — okujjako nga aganyi

okukiriza Yesu Kurisito ng’omulokozi era nga tamwekuteko.

Laba nga tewaliwo budde bukuyitako nga togenze ku mavivigo

okwenenya ebibi byo ng’osaba Yesu akusonyiwe era kati

mwegayirire afuge obulamu wo. “Leero bwe bulokozi

wo” (Abakkolinso 6:2) — si nkya, kubanga enkya buyinza okuba

nga buyise.

Amazima g’okuba n’obulamu oluvanyuma lw’okuffa okuyita

mu Kurisito mukisa n’okumatiza kwa manyi eri abo abakyali

abalamu, naye eri abo abaffa edda

Abo abatuvako edda oba ababumula bajjakuzukiziwa badde

mubulamu — nga mw’otwalidde abagana Kurisito Wandika

oyige: Ekyo kuyiga ekidako ku nsoga enkulu ey’okuzukira ku

kapapula kaffe akaddako eri.

Wewandise mukubanguliwa okuyiga Baibuli

EYOBWERERE, oba oyagala okumanya, ebisingako

wandikira: NAHATE JOEL

P.O. Box 268,

Tororo, Uganda, East Africa.

nahatesam@yahoo.co.uk

Oba www.LightMinistries.com

OKUFFA

KUYINZA

OKUTISA

Waliwo enzikiriza nnyingi ezinkontagana ku nsonga yo kuffa

era kufanana kutya okusuka emagombe, nti kifuka ekizibu

okumanya nzikiriza ki entufu. Naye Katonda teyaleka abantu be

mu kibubalo ekyo kwebunya ku nsonga eno enkulu nga tabawadde

kulaba mu maso ku amazima g’ekintu kinno.

“Buli eky’awandikibwa kirina okulunghamya kwa Katonda,

era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga,

olw’okuterezanga, olw’okubulira okuli mubutukirivu: omuntu wa

Katonda alemanga okubulwanga kyonna kyonna, ng’alina ddala

byonna olwa buli mulimu omulungi.” 2 Timoseewo 3:16.

Nga buli kyawandikibwa bwe kyalunghamizibwa Katonda, kati

ku mpampula zinno entukuvu mwetuyinza okusanga omusingi

ogw’amazima ogw’enjigiriza entufu, era olw’okunenya,

n’okulongosamu, olw’okutereza mu munsobi zaffe, era kati ne

tufuna amagezi og’obutukirivu amalongofu. Kale kiki Katonda

ky’ayogera ku kuffa okuyita mu kigambo kye

Okusoka mu byonna Okuffa ky’ekiki Bayubuli elaga

emirundi ne mirundi nti okuffa kifananyiziwa n’okwebaka.

Mubisera by’Nndagano Enkadde, omuntu bw’eyaffanga,

kyalangirirwanga nti “y’ebase awamu ne bajjabe” (laba mu 1

Bassekabaka 2:10, 11:43, 14:20,31, 15:8,24). Mubisera

eby’Endagano Empya okuffa kw’afananyizibwa n’okwebaka (1

Abbakolinso 11:30, 15:20; 1 Abassesolonika 4:14). Yesu naye

ayogera buterevu ku kintu kinno nga ayogera ku kuffa kwa

mukwano gwe Lazalo. “Mukwano gwaffe Lazalo yeebase; naye

nghenda okumuzukusa. Awo abayigiriza ne bamugamba, nti

Mukama waffe obanga yeebase, anamuzukusa. Naye Yesu

n’ayogera ku kuffa kwe: naye bo ne balowooza nti ayogera ku

kwebaka kwa tulo. Awo Yesu n’alyoka ababulira lwatu, nti Lazalo

afudde.” Yokana 11:11-14.

Kale okuba nga ofudde kifanana n’okubera nga obwebase

(laba ne mu Matayo 27:52; 1 Abbakolinso 15:51; Danyeri 12:2).

Naye bwetuffa oba bwetugwa mukwebaka, kiki ekibawo

“Omukka gwe gumuvaamu, nadda mu ttaka lye; Ku lunaku olwo

ebirobooze bye ne bibula.” Zabuli 146:4.

Katonda ayogera nti bw’etuffa, tetuba na biroboozo oba

ebiroboozo ebikola. Tewaliyo kutegera mu ntana. Kale Katonda

alitulaga eby’amagero bye,

ebyayita, ebiriwo, oba

ebiriberawo magombe

Nedda. “Olilaga abafu

by’amagero Abaafu

b a l i g o l o k o k a ,

balikutendereza...Ekisa kyo

kiribulirwa mu magombe N’obwesigwa bwo mu kuzikirira

Eby’amagero byo birimanyirwa mu kizikiza N’obutukirivu bwo

mu nsi ey’okwerabira” Zabuli 88:10-12.

Tujja kutendereza Mukama mu magombe “Abafu

tebatendereza Mukama, Newankubade abo bonna abakka mu

kusirika.” Zabuli 115:17.

Olowoboza tujjukira Mukama mu magombe Nedda.

“Kubanga tewali akujjuukirira mu kuffa: Ani alikwebaliza mu

magombe” Zabuli 6:5.

Olowoboza tulilabayo omuntu yenna nga tuli bafu Nedda.

“Omutima gwange guntundugga, amanyi gange gampweddemu:

Omusana ogw’amaso gange, era nagwo gumbuze. Abanjagala ne

mikwano gyange beewala ekibonoobono kyange; Ne baganda

bange bayimirila wala.” Zabuli 38:10-11.

Naye tetulaba abagalwa baffe nga bajja ku magombe gaffe

okutwesinza olusembayo Nedda. “Naye omuntu affa era

ayongobera: wewaawo, omuntu ata omukka, kale ali ludda wa

Batabani be batuukamu kitibwa, ye nga takimanyi;

Bakkakkanyizibwa, naye ye nga tategera bwe bali....”Yobu 14:10,

21.

Kale abo abafa tebaliko kye bamanyi! “Kubanga abalamu

bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliko kye bamanyi, so nga

tebakyalina empera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa.”

Mubuulizi 9:5.

Mazima, okuba ng’ofudde kyefananyiriza eyeebase — nga

Yesu bwe y’ayogera. Ate nga abamu bayigiriza nti mu kufa abamu

bagenda buterevu mu ggulu. Naye Katonda ayigiriza nti tugenda

mu ggulu era ne tulaba Mukama waffe bwe tufa “...mwe

ndigendera mu miryango gy’emagombe...N’ayogera nti siriraba

Mukama, munsi yabalamu...” Isaaya 38:10-11.

Abalala bayigiriza nti abenghanda zabwe abafa bali mu ggulu

nga babatunulira era nga babakolera obulungi okuyita mu ngeri

ez’enjabulo. Naye kinno e Bayibuli kyeyigiriza Nedda. “Buli

kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n’amanyi go;

kubanga tewali mulimu newankubadde okutesa, newankubadde

okumanya, newankubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.”

Mubuulizi 9:10.

Kiri kitya eri abo abakiriza nti mu butufu balabye oba

bogeddeko n’abagalwa babwe abafa nga befananyiriza nga

abazukidde mu bafu “Bw’atyo n’omuntu agalamira n’atayimuka:

okutusa eggulu lwe litalibawo nate tebalizuukuka, so

tebalizuukuzibwa mu tulo twabwe.” Yobu 14:12.

Kati eri abo abakiriza mu oba abo abalabyeko emizimu oba

emisambya zabo abafa nga babakabirira mu nyumba oba kubigya

oba nga bayamba abantu “...naye abafu tebaliko kye bamanyi, so

nga tebakyalina empera; kubanga ekijjkizo kyabwe kyerabirwa.

Okwagala kwabwe kwenkana n’okukyawa n’obuggya bwabwe

okuzikirira kakano: so nga tebalina mugabo enaku zonnamu byonna

ebikolebwa wansi w’ejuba.” Mubuulizi 9:5-6.

Kati abafu tebalina kutegera mu bulamu bwabwe bwonna.

Tebasola kujjukira omuntu yenna oba ekintu kyonna ekirungi oba

ekikyayibwa, ekyagalibwa oba ekibi mu bulamu bwabwe.

Olwokyo, singa baba bakomyewo ng’emizimu oba emisambya,

tebasobola kujjukira ani gwe basobola okuyamba oba okukabirira!

Ate abantu bangi balabye emizimu oba emisambya mu butufu

era n’ebintu ebitisa eby’enjabulo. Abalala babulidde amalobozi

ag’atasobola kunyonyolwako era n’ebalaba ebikolwa ebitali bya

buntu. Naye kasita Bayibuli eyigiriza nti emizimu tegisobola

okubera emisambya z’abantu baffe benyini abafa nga gizukizibwa

mu bulamu, kati banni abayimirirawo olw’ebintu ebitisa

“Newaba olutalo mu ggulu: Mikaeri ne bamalayika be ne

batabala okulwana n’ogusota; ogusota ne gulwana ne bamalayika

baagwo; ne batayinza, so ne watalabika kifo kyabwe nate mu ggulu.

N’ogusota ogunene ne gusuulibwa omusota ogw’edda oguyitibwa

omulyolyomi era Satani omulimba we nsi zonna; ne gusuulibwa ku

nsi ne bamalayika bagwo ne basuulibwa nagwo....Kubanga gye

mizimu gya baalubale, egikola obubonero; egigenda eri bakabaka

b’ensi zonna...” Okubikkulirwa 1:7-9; 16:14.

Kale waliwo emizimu oba emisambya leero, ate nga tewali

n’ogumu ku gyinno egiba abafu nga bakomawo okuva mu

magombe. Gyinno gyiba abamalayika ababi oba balubaale b’omubi

abagobebwa okuva mu ggulu. Ebitonde binno ebibi biri kugezako

okw’efananyiriza abafu abakomawo mu bulamu. Sikyansonga ani

gwe befananyiriza — n’omutume Paulo eyafa oba abagoberezi ba

Kurisito abalala. Mu mazima, omufu omu watusa okumanyibwa,

bwe bulungi okumwefananyiriza.

Naye lwaki bamalayika banno ababi befanayiriza abafu era

n’olulala bogera eri abo be balinako enkolagana nabo

Ekigendererwa kyabwe kyonna kiri okulimba abantu era bagezwko

okubagamba nti obubaka bwe bababulidde ddala butufu nga ge

mazima. Naye oloboza omubi awamu na bamalayika be ababi

bayinza okwogera amazima “ Mmwe...so teyanywerera mu

mazima kubnga amazima tegali mu ye. Bw’ayogera obulimba

ayogera ebiva ku bibye; kubanga ye mulimba era kitabwe

w’obulimba.” Yokana 8:44.

Kale tetulina kukiriza obubaka bwonna obwesigamizibwa ku

bitisa binno eby’enjabulo oba ebiyitibwa emizimu eza bafu

kubunga butalimu naye bulimba! Obulimba obukulu omulabe

n’emizimu gye emibi byegigezeko okulaga nga ge mazima

kwekukirizisa nti bwe tufa ememe zaffe zeyongera okuba emilamu.

Obulimba bunno bumanyidwa nga obutafa w’omwoyo, era bangi

kyebatekebwa mu okukikiriza nti mazima. Naye omuntu alina

obutafa

Bayibuli eyigriza nti abantu bonna “baffa”, tebalina obutaffa

(laba Yobu 4:17; Abarumi 6:12). Mubutufu, Katonda yekka

“yalina obutaffa.” 1 Timoseewo 6:16.

Kale eby’awandikibwa ebitukuvu byogera nti ku kuffa

tetugenda okuberera abalamu emirembe gyonna. Tetugenda mu

ggulu oba mu Ggeyyeena bwetuffa, naye twebaka mu magombe.

Yade tetufuka kintu kirara kyonna nga abanamawanga bwe

bakiriza mu bulamu obutakoma obwetola — okweyongera

okwezala bwetuba nga

tuffude nate Mu kusasila

kwa Katonda ayogera nti

omuntu affa Omulundi

gumu — nga simirundi

mingi. “...Era ng’abantu

bwe baterekerwa okuffa

o m u l u n d i o g u m u ,

o luvanyu ma lw’okwo

musango...” Abaebbulaniya 9:27.

Naye ekibuzo ekinene ekisana okwebuzibwa kiri: Kiki

ekiretera abantu okuffa mu kifo ekisoka “Naye omuti

ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku

lw’oligulyako torilema kuffa....Omukazi bwe yalaba ng’omuti

mulungi okulya....nanoga kubibala byagwo ne balya....Mukama

Katonda n’ayita omusajja n’amugamba nti Oli luyiwa...Kubanga

oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mwolidda. Oluberyeberye 2:16-17;

3:6, 9, 19.

Kati okuffa ne kutandika ku amateeka ga Katonda oba

ebiragiro bye lwe byajjemerwa era ne babimenya. Naye kiki

ekibawo kyennyini bwe tujjemera oba ne twonona amateeka ga

Katonda “Buli muntu yenna akola ekibi akola n’obujjeemu; era

ekibi bwe bujjeemu.” 1 Yokana 3:4.

Kati mu kumenya amateeka ga Katonda, twonona, era kiki

ekibawo mu kulonda okukola ekibi. “Kubanga empeera y’ekibi

kwe kuffa...” Abarumi 6:23.

Ani ey’akola era omutandisi bw’ekibi era n’okuffa “Wali

ng’otukiridde okuva mu makubo go okuva ku lunaku

wewatonderwa okutysa obutali butukirivu lwe bwalabika mu bwe.”

“Oyo okuva ku luberyeberye ye mussi...” Ezekeri 28:15; Yokana

8:44.

Kale Katoda tayinza kunenyezewa olw’ekibi oba okuffa

kubanga omulabe oba Setani oba Lusiffa ye mutandisi era ey’akola

ekibi n’okufa era yekka avunanyizibwa olw’okutya, obulumi,

okubonabona okuletewa. Era kasita ekibi ky’ayingira mu nsi

n’ekibonerezo kyakyo eky’okuffa, abantu bagezezako okunonya

okulaba ekubo okusobola okw’ewala okuffa era beyongere

okuberabo, era Omulaabe ayizinza okutuwangula okutuyamba

okukiriza n’obulimba bwe.

Abangi bakiriza nti endoboza egamba nti ekibi kyokka kye

kivako ekibonerezo ky’okuffa eri emibiri gyaffe, naye ememe

Hooray! Your file is uploaded and ready to be published.

Saved successfully!

Ooh no, something went wrong!